Yesu Mukama Omulokozi
[1]
Yesu Mukama Omulokozi
Yajja mu nsi okunoony(a) ababi;
Nga kwa kitalo okwagala kwe,
Yajj(a) okunoonya nze.
Yajj(a) okunoonya nze,
Yajj(a) okunoonya nze.
Nga kwa kitalo okwagala kwe,
Yajj(a) okunnonya nze.
[2]
Yesu Mukama Omulokozi,
Bwe nali mu nvuba ya Setani,
Yannunula n'omusayi gwe ye
Yesu yanfiirira.
Yesu yanfiirira,
Yesu yanfiirira,
Yannunula n'omusaayi gwe ye
Yesu yanfiirira.
[3]
Yesu Mukama Omulokozi,
Bwe nali nga nvudde mu kkubo lye,
Yankowoola n'okusasira kwe,
Yesu yampita nze,
Yesu yampita nze,
Yesu yampita nze,
Yankowoola n'okusaasira kwe,
Yesu yampita nze.
[4]
Yesu Mukama Omulokozi
(E)kigambo kino kye kisanyusa,
Ndimulaba lw'alijja n'ebire,
Okuntwal(a) ewuwe.
Okuntwal(a) ewuwe,
Okuntwal(a) ewuwe,
Ndimulaba lw'alijja n'ebire,
Okutwal(a) ewuwe.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.