Yesu ayagala Abaana
[1]
Yesu ayagala (a)baana,
Abaana bonna mu nsi
Tayinza kubagobera ebweru.
Yagaan (a) okubagoba,
Era tabeerabira; N'obwaana
(o)bukafiiri obw'ewala.
CHORUS
Yesu ayagala (a)baana,
Abaana bonna mu nsi,
Abeeru n'abakyenvu,
Naffe abaddugavu;
Yesu ayagala (a)baana bomu nsi.
[2]
Nkumi na nkumi baffa,
eyo mu nsi (e) zewala;
Tebamanyi na kwagala kwa
Yesu. Tusab (e) era tusuute,
Balyoke bategeere,
Ekitibwa ekibalindiridde.
[3]
Ka tubuulire wonna,
Obulungi bwa Yesu;
Enjiri ebune mu nnimi zonna.
Tuyimb (e) era tusuute,
Omulokozi waffe:
N'abantu bonna bamutendereze.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.