Yesu Atuyita Fenna
[1]
Yesu atuyita fenna,
Mukole mu nnimiro;
Kubanga zonna zengedde,
Anakola aluwa?
Ayita ggwe era nange,
Empeera ye nnene nnyo;
Ani addamu n'essanyu,
Nti 'Nze nzuno; ontume.
[2]
Ne bw'otogenda wala nnyo
kunoonya bakafiiri,
Ojja kubasanga bangi,
Kumpi ku mirirano,
Oba toli mwogezi nnyo,
Okwenkana Paulo,
Yogera ku Yesu kyokka,
Nga yafa kulwa bonna.
[3]
Obanga toli mukuumi,
Weteeke ku Sayuni,
Nga obalaga ku Yesu,
'Ekkubo n'obulamu.
Ggwe nyikira mu kusaba,
Ye anakola byonna,
Ojja kuba nga Aloni,
(O)kuwanirira Musa.
[4]
Abantu bazikirira,
Mukama akuyita,
Togezako kugamba nti
'Nze siriiko kye nnyinza.
Kola gwonna gw'akuwadde,
Era kole n'essanyu;
Bw'akuyita ddamu bw'oti,
Nti 'Nze nzuno: ontume.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.