Yesu Aliku'nganya Abantu
[1]
Yesu aliku'nganya (a)bantu,
(O) kulabika mu maaso ge;
Tuliba tutya musango,
Bw'alituyit(a) okuwoza?
CHORUS
Aliteeka (e)'ngano mu ggwanika,
Alisuula ebisusunku;
Tuliba tutya mu musango
Ku lunaku olukulu?
[2]
Tulimuwulira ng'agamba,
'Oli muddu omwesigwa?'
Oba tulitya n'obulumi.
Nga tugobwa mu maaso ge?
[3]
Alisanyukira (a)baana be,
Ng'alaba be yanunula;
Alibambaza (e)by'omu ggulu,
Balifukamira w'ali.
[4]
Ka tutunule twekuumenga,
Ettabaza nga zaka nnyo;
Awasa (o)mugole bw'alijja,
Twetegeke okugenda.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.