Yesu, Gwe Kigambo Omulamu
[1]
Yesu, gwe kigambo omulamu,
Mmwenyer(a) omugaati
ogwo mu ggulu;
Ku ennyanja edda,
abatume, baliisibwa
Nagwo, ne bakkuta
[2]
Kalenno nze leero,
netaaga nnyo;
Okulya kigambo ky'obulamu,
Ebigamboo leero,
By'otuwadde,
Bibeere eby'okutuzuukusa.
[3]
(O)mubiri gwo, Yesu, waguwaayo;
okuba emmere (e)taligwawo;
Endagaano empya gwe
musaayi gwo, (o)gwayika
(o)kujjawo ebibi byaffe.
[4]
Yesu wa omukisa, amazima;
(a)gatubikkulidwa olwa leero,
Netaga okugonda,
naye nnemwa; gwe omubeezi
wange, ompanguze.
[5]
Bonn(a) abakkiriza saddaka
yo, olw'ebibi byabwe
basonyiyibwe;
Yesu, omugabuzi, ow'embaga,
Tuss(e) kimu nawe,
ng'okomyewo.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.