Wulira Eky'essanyu
[1]
Wulira eky'essanyu,
Yesu alokola.
Ka tukibunye wonna,
Yesu alokola.
Bunyisa mu nsi zonna,
Ku nsozi n'ebizinga,
Katonda bw'atugamba,
Yesu alokola.
[2]
Bulira buli muntu,
Yesu alokola.
Tegeeza abonoonyi,
Yesu asonyiwa.
Mmwe (e)bizinga muyimbe,
N'ebyomu mazzi byonna,
Ensi eyogaane nnyo,
Yesu alokola.
[3]
Muyimbe mmw(e) abalwanyi,
Yesu alokola.
Olw'okufa kwe kwonna,
Yesu alokola.
Ne bw'obeera mu nnaku,
Ng'olumwa mu mwoyo gwo,
Ne mu kufa yimba nti,
Yesu alokola.
[4]
Yimba nnyo mu bbanga nti,
Yesu alokola.
Ensi zonna ziyimbe,
Yesu alokola.
Obulamu bwa buwa
Bulira mu mawanga,
Kwe kuwangula kwaffe,
Yesu alokola.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.