Wonya Bonna Abo Abali Mu Kibi
[1]
Wonya bonna abo (a)bali mu kibi
Bakwakule okuva mu kufa;
Sasira abantu abalumwa (e)nnyo.
Balag(e) obulokozi bwa Yesu.
CHORUS
Leeta abantu abali mu kuffa
Bawone olw'ekisa kya Yesu.
[2]
Newakubadde nga bo bamunyoma,
Ye yetaaga okubalokola.
Abayita bonna n'okwagala kwe,
Bwe bakiriza anasonyiwa.
[3]
Ab(o) abayonoonebwa omulabe
Mukama ajja kubaza buggya.
Olw'okagala kwe, era n'ekisa
Anawonya buli (e)kyonoonese.
[4]
Fubanga ku lw'abo bonn(a) ababula
Mukama anakuwa ammanyi.
Bakomyewo (a)bangi mu kkubo (e)ddungi;
Bategeez(e) eyafa ku lw'ababi.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.