Wesibe kulwa Yesu
[1]
Wesibe kulwa Yesu,
Ggwe omulwanyi we
Yimusa (e)bendera ye,
so togissa wansi!
Tuli ba kuwangula,
Abalabe bonna,
Yesu alyok(e) afuge
Nga Kabaka yekka.
[2]
Wesibe kulwa Yesu,
E'ngoma erawa
Olutalo lunene,
Golokoka mangu!
Abasajja, mulwane,
(A)balabe bangi nnyo,
Naye muddemu (a)manyi,
Tujja kuwangula
[3]
Wesibe kulwa Yesu,
Wesige (a)maanyi ge,
Ggwe oli munaffu nnyo,
Wesige ye yekka!
Mu maanyi g'enjiri ye,
Wamu n'okusaba,
Mu buli kabi konna,
Lwaniranga mu ye.
[4]
Wesibe kulwa Yesu,
(O)lutalo terulwe,
Lweraga ng'olwamanyi,
Naye terulwewo!
Awangul(a) aliweebwa,
Engul(e)cey'obulamu,
Alifuga ne Yesu,
Emirembe gyonna.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.