Webale Okutukuuma
[1]
Webale okutuuma
(O)kutuyisa mu nzikiza;
Kakati nno nga bukedde
Fuka ku ffe ekisa kyo.
[2]
Ku lunaku luno (o)luggya
Oziyize obucwano;
Ku baana abato nga ffe
(E)bikemo tubiwangule.
[3]
Nga tukola emirimu
Eminene n'e mitono,
Ka tuleme kwerowooza
Okusinga ku bannaffe.
[4]
Ka tufaanane nga Yesu
Eyasooka (o)kutwagala;
Ow'ekitiibwa n'ettendo
Eyassa wali (e)kitiibwa.
[5]
Ffe bwe tutyo nga tulaba
Tuyambe Yesu twetikke
(O)musalaba gwaffe, leero,
Era tukugoberere.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.