Wansi w'Omusalaba we Nyimirira Nze
[1]
Wansi w'omusalaba
We nyimirira nze,
Guli ng(a) ekisikirize
Ky'olwazi mu ddungu;
Era guli nga (e)kisulo
Mu lukoola (o)lubi,
Abatambuz(e) abanaku
We bawummulira.
[2]
We guli we mpummuza
Omugugu gwange,
Omusana nga gwaka nnyo,
Newogoma mu gwo;
Bwe ngufumitiriza ko,
Ne ndowooza Yesu
Eyafa ku (o)musalaba,
Mufukamirira.
[3]
Yesu, Omusana
Omulala, sagala,
Amaaso go galabika
Gyendi nga enjuba;
Amadala agagenda
Mu guulu ge gano:
Omusalaba gwo,
Yesu, era gwe gwange nze
[4]
(E)byekitabo bibiri,
Bye njatula leero:
(E)bibi byange (e)bingi era
(O)kwagala kwo (o)kungi;
(O)musalaba gunsanyusa
Okusinga byonna,
Ensi leka empiteko,
Ndabye ekitiibwa!
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.