Twala Ensi, Ompe Yesu
[1]
Twala ensi, ompe Yesu,
Eby'ensi tebirwawo;
Naye (o)kwagala kwa Yesu,
Kwo kwa mirembe gyonna.
CHORUS
Ekisa kya Yesu kingi!
Nga wa kwagala kungi!
Oyo eyatununula,
N'atuwa obulamu.
[2]
Twala ensi, ompe Yesu,
Ye anasnyus(a) omwoyo;
Yesu bw'aba nga ankuuma,
Siriiko kye ntya kyonna.
[3]
Twala ensi, ompe Yesu,
Bw'aba nga anjakira;
Mu lugendo lwange lwonna,
Nafuna omusana.
[4]
Twala ensi, ompe Yesu,
Nze nesiga kufa kwe;
Okutuusa lw'alintwala,
Ne mulaba n'amaaso.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.