Tusanyunka Yesu Okujja
[1]
Tusanyuka Yesu Ajja!
Ens(i) emwanirize;
Buli omu yeteeketeeke,
Buli omu yeteeketeeke,
N'ebitonde byonna
Eby'eggulu n'ensi.
Byonna bimutendereza'
[2]
Yesu ajja okufuga!
Fenna tuyimbe nnyo;
Ensozi n'emigga byonna,
Ensozi n'emigga byonna,
Bimusanyukire,
Bimutendereze;
Ka biyimbenga n'essanyu.
[3]
Yesu ajja (o)kulongosa
(E)bintu byona by'ensi!
(A)maggwa gonna ag'ekibi,
(A)maggwa gonna ag'ekibi,
Go tegaliddayo, Okuzisa ensi.
(E)kikolimo kiweddewo.
[4]
Ajja (o)kuleeta eddembe!
Amawanga gonna
Galiraba (e)kitiibwa kye,
Galiraba (e)kitiibwa kye,
Nga gatendereza,
Era gasanyuka.
Okwagala kwe okungi.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.