Tumusseeko Engule
[1]
Tumusseeko (e)ngule,
Omwana gw'endiga;
Muwulire amatendo ge
Agatenkanika
Fuba mwoyo gwange,
N'amanyi gonna;
Oyatule Kabaka wo,
Eyakufiirira.
[2]
Tumsseeko (e)ngule,
Mukama w'emyaka;
Yawangula abalabe
Abaamujeemera;
Banabbi ab'edda,
Bye bamulangako,
Baalaba ekitiibwa kye
Nate baamusinza.
[3]
Tumusseeko (e)ngule
Omwana w'omuntu;
Enkovu z'ebiwundu bye
zireet(a) amaziga
Kino kya kitalo
ekitenkanika,
Emikono (e)mifumite
Gituw(a) obulamu.
[4]
Tumusseeko (e)ngule
Afuga (e)mirembe;
Eyatuwanguza fenna
Abamweyabiza
Mununuzi waffe,
Kkiriza (e) ttendo lyo
(E)miremb(e) egitekanika
Lye girikussaako.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.