Tumusinze Mukama Waffe
[1]
Ka tumusinze Mukama waffe,
Tuyimbenga ku kwagala kwe,
Oyo yekka kye kiddukiro kyaffe,
Ekitiibwa kyonna kimwetolola.
[2]
Tuyimbe ku kisa kye ekingi,
(E)Byambalo bye gwe (o)musana gw'ensi;
Okubwatuka kwe kutiisa bonna,
Amakubo ge gali ne mu mpeyo.
[3]
Obuyinza bwe era nentiisa,
Birabikira wonna ku bire;
Eggulu n'eraddu n'omuyag(a) era,
Byonna baddu be abamuwereza.
[4]
Wansi w'eggulu (O)mugulumizu,
Wateekebwa dda enkuluze yo;
Ye nsi gye wasimba n'ogyetooza,
Ennyanja zonna nga ensalo zaayo.
[5]
Ani ayinza okunyumiza,
Ebyo, (O)mugabi waffe by'ogaba?,
Eby'ekisa kyo by'ebyokwewunyisa;
Katonda, (O)mulokozi, ne Kabaka.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.