Loading Songs...

Simanyi Ssaawa W'anajjira

[1]
Simanyi ssaawa w'anajjira,
Mu ttuntu oba mu tumbi,
Ku makya, oba kawungezi,
Atuyambe tutunule!
Ettabaza zaffe nga zaaka,
Anatusanga bwe tutyo
Ab'omunju ye nga tulaba,
Nga tumulindirira nnyo.

CHORUS
Nga - - - tulaba- - - nnyo,
(Tumulindirira Yesu)
Nga - - - tulaba- - - nnyo,
(Tumulindirira Yesu)
Nga - - - tulaba- - - nnyo,
(Tumulindirira Yesu)
Tumulindirira Yesu.

[2]
Lowooza ekisa kye ekingi,
Omuwendo gwe yawaayo;
Yaleka ekitiibwa kyonna,
N'ajja okufa ku lwaffe;
Kale ekisanyusa kye kino
Yesu ffe yatufiirira,
Bwe tulituuka mu ssanyu lye,
Ne tulaba ku maaso ge.

[3]
Ayi Yesu eyanunula,
Omanyi nga nze nsanyuka,
Nga nsuubira ikukulaba,
Ndyoke nkwanirize ng'ojja;
Nkusaba Yesu onnyambe nze
Okulokola abalala,
Nendyoka mbaleetanga gy'oli
N'essannyu mu ssaaawa eyo.


Support Mysongbooks

Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.

Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.

Buy me a coffeeBuy us a coffee

Like this song

5 Likes

Share this song

Facebook WhatsApp Twitter Telegram LinkedIn Email

Lyrics Videos on Youtube

Victory In Jesus Victory In Jesus
Golden Bells
See, What A Morning See, What A Morning
Songs On Request
Joy to the World Joy to the World
Sunday School Songs
HOLY HOLY HOLY HOLY HOLY HOLY
Songs Of Prayer And Praise