Ontegeeze Ayi Yesu
[1]
(O)ntegeeze ayi Yesu
n'eddobooz(i) eddungi
Mpulire ng'ogamba nti,
'Guma toli wekka,'
Nnongosa omutima
mpulir(e) eddoboozi
Nyimbeng(a) amatendo go,
nsanyukire mu Gwe.
CHORUS
Ontegeeze n'ekisa
Mu kisa ky(o) ondage,
Nti mu Gwe ndiwangula,
Ndifuna eddembe.
Ontegeeze kakano,
Mu kisa kyo (e)kingi;
Mpilire bw'ogamba nti
'Guma toil wekka.'
[2]
Tegeez(a) ababo bonna
balag(e) ekkubo lyo;
Obajjuz(e) essanyu lyo
(o)bawe (o)kukusaba.
Bawengayo (o)bulamu
bwabwe bonna gyoli,
Bakole (o)mulimu gwo
(o)kutuusa lw'olijja.
[3]
Mukama mbikkulira
nga banabbi (a)b'edda,
Kye nsana okukola
ntuuse (a)mateeka go;
Ka nkugulumizenga,
Nate ka nnyimbega,
Nkolenga by'oyagala,
nkutendereze.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.