Onsembeze Mu Kifuba kyo
[1]
Onsembeze ayi Mukama,
Naye sirina kyonna kye nkuwa;
Onkumire mu kifuba kyo
Akabi konna gye katatuuka;
Akabi konna gyekatatuuka.
[2]
Onsembeze ayi Mukama,
Naye sirina konna ke nkuwa;
Ndeese ebibi byange byonna,
gwe onongose n'omusaayi gwo;
Ggwe onongose n'omusayi gwo.
[3]
Onsembeze mbe wuwo wekka,
Ebibi byange byonna mbiwaayo;
N'okwesiima kwonna (o)kwekibi,
Neetaga Yesu eyanfiirira;
Neetaga Yesu eyanfiirira.
[4]
Onsembeze ddala gy'oli,
Ontuuse mu kitiibwa kyo kiri;
Eky'emirembe n'emirembe,
Mbeerenga wamu ne Yesu wange;
Mbeere wamu ne Yesu wange.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.