Omusumba Omulungi Akuyita
[1]
Omusumba (o)mulungi
Akuyita leero;
Jjangu mu kisibo kye,
Owummule mu ye.
Obanga oli mukadde,
Oba muvubuka
Wulira eddoboozi lye,
Yingira mu (e)kkubo lye.
CHORUS
Akuyita n'ekisa ekingi,
'Jjangu gyendi eyakyama edda;
Komawo ggwe nga omutambuze,
Komawo gyendi nate.
[2]
Omusuumb(a) omulungi
yawaayo (o)bulamu;
Kakano akuyita
Agamba nti, 'Jjangu,
Dduka oleme okufa,
Waliwo akabi:
Obanga oli mukadde,
oba muvubuka.
[3]
Tolwa naye yanguwa
Dduka emisege:
Eginoonya endiga
Enkulu n'obuto.
Omusumb(a) omulungi
Akuyita 'Tolwa;
Jjangu gyendi kakano,
Owummule mu Nze.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.