Omulokozi Waffe, Ekisakyo Kingi
[1]
Omulokozi waffe,
Ekisa kyo kingi;
Wasanyusa (a)balwadde,
Bwewabeera mu nsi;
Kakano ffe tutuno,
Mu nnaku nnyingi nnyo.
Mu kwagala kwo (o)kungi,
Oteg(e) amatugo.
[2]
Ff(e) abakun'ganye wano,
Twetaag(a) ekisa kyo;
Kubanga mu mubiri,
Tulumwa nnyo nnyini:
Naye Katonda waffe,
Bw'otuula gyetuli
Endwadde zaffe zonna,
Zinafuuka (a)maanyi.
[3]
Bwetunalab(a) ennaku,
Ffe tunakwesiga:
Tunalwan(a) obulungi.
Ng'abaddu'bo Yesu:
Ka tugume emyoyo.
Netunyuwerera:
Toleme kutubeera,
Ku lw'obuyinza bwo.
[4]
Ff(e) abakun'ganye wano,
Twetaag(a) ekisa kyo;
Kubanga mu mubiri,
Tulumwa nnyo nnyini:
Naye Katonda waffe,
Bw'otuula gyetuli
Endwadde zaffe zonna,
Zinafuuka (a)maanyi.
[5]
Edda twalab(a) ennaku,
Ezatuluma (e)nnyo:
Kakan(o) essanyu lyokka,
Yesu, (o)lwekisa kyo:
Netuweebwa ku lulwo,
Obutukirivu;
Ayi Omusawo waffe,
Mukama tolwaawo.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.