Omulokozi Ndimulaba
[1]
(O)mulokozi ndimulaba ssanyu liriba litya,
Bwe ndirabagana n'oyo Yesu eyanfiirira.
CHORUS
Ndimulaba mu kitiibwa,
Bw'alijjira ku bire,
Maaso n'amaaso, Mukama
Ndimulaba ye nnyini!
[2]
Siyinza okumulaba olw'enzikiza y'ensi,
Naye olunaku lujja. Lwendiraba amaaso ge!
[3]
Tulijaguza nnyo nnyini, (E)nnaku nga ziweddewo;
Ensobi nga zigoloddwa Tulibeera mu ddembe.
[4]
Tuliba basanyufu nnyo, lwe tulyogera naye;
Nga tuwulir(a) eddoboozi ly'omununzi waffe!
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.