Olwazi Lw'edda N'edda Ggwe
[1]
(O)lwazi lw'edda n'edda ggwe,
Olwanjatikiriza nze;
Omwo mwe nekwekera,
Omusaayi gwe mwe gwava,
Ebibi binziyeko,
Nfuula omuwanguzi.
[2]
Emirimu gy'engalo,
n'okufuba kw'omuntu,
Namaziga agajja ennyo,
Emisana n'ekiro;
Byonna tebiggyawo bibi,
ggwe wekka omulokozi.
[3]
Sirina nze bulungi,
Nkwesize ggwe bwesizi,
Omweerere nyambaza,
Omunakku mp(a) ekisa,
Laba bwendi omubi,
Onaaze, nkuwerezze
[4]
Bwendituka mu ggulu,
nga nina ebbibala;
Bwe ndiraba ggwe Yesu,
ne nsanyukila w'oli,
Ndibeera nga siyinza,
Okwegulumizanga.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.