Olunaku Lwaffe Luno
[1]
Olunaku lwaffe luno,
Kakano luweddeko,
Enkya twebazizza Yesu,
Tumusuute n'ekiro;
Naye wano nga buzibye,
Awalala bukedde:
Buli ssaawa wanabeera
Abasuut(a) Erinnya lye.
[2]
Omusana nga bwegujja
Mu nsi (e)zitali zimu,
Nga gwetolool(a) olukalu,
Nga gugob(a) enzikiza.
Bwekutyo (o)kutendereza,
Okw'abaanabo leero,
Tekusirika mu Bantu,
Tekukoma n'akamu.
[3]
Ffe kakano tunebaka,
Naye baganda baffe,
Bakazukuka (a)walala,
Balyoke bakwebaze:
(O)bwakabaka bwo Mukama,
Tebugenda kuggwawo,
Buli buna mu Mawanga,
Nebufug(a) Ensi zonna.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.