Okwagala We Kuba
[1]
Okwagala we kuba, tewaba nnaku;
Amaka agekisa, gajjul(a) esanyu;
Buli wantu nga ddembe,
(E)mboozi empoomerevu
Liba ssanyu jjerere, olw'okwagala
CHORUS
(O)kwagala, mumaka;
Liba ssanyu jjerere
olw'okwagala.
[2]
Mu nju libeera ssanyu,
O'lw'okwagala;
Tewabaawo kiyinza,
Olw'okwaagala;
Wonna wonna mu nyumba,
Nga wajjudde essanyu,
(O)bulamu busanyusa,
Olw'okwagala.
[3]
Ne Yesu asanyuka,
Nga twagalana;
Okukyawa n'obuggya,
Tebibeerawa,
(A)maka agaalana,
Gabeera ga muwendo,
Boolesa obulungi
Obwa Kitaffe.
[4]
Yesu nfuula owuwo,
Mbe n'okwagala;
Er(a) olwa saddaaka yo,
Nfuula omuggya,
Ggwe omponye mu bubi
Ompummulize mu Ggwe
Ompe omukisa gwo,
Olw'okwagala.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.