O'ngumyenga nga nesiga
[1]
O'ngumyenga nga nesiga
(O)musayi gw'Omulokozi;
Nnem(e) okwesig(a) ebirala,
Naye 'ngumirenga ku Gwe.
CHORUS
Ka 'ngumirenga ku Yesu,
Byonn(a) eby'ensi gwe musenyu.
Byonn(a) eby'ensi gwe musenyu.
[2]
Byonn(a) eby'ensi ne bwe bijja,
Ka ndowooz(e) eby'omu ggulu;
Mu bulimi ne nnaku,
Toyinza kundeka nzekka.
[3]
Byonn(a) eby'ensi ne bwe bijja,
Ka ndowooz(e) eby'omu ggulu;
Mu bulimi ne nnaku,
Toyinza kundeka nzekka.
[4]
Mazima go ge ga'ngumya,
Ne byonna bye wasuubiza,
Ne bwefirw(a) ebyange byonna,
Ka nesigenga Ggwe wekka.
[5]
Ekiseera kiri kumpi
Ka neweyo annogose,
Annaze n'omusayi gwe,
Ampe n'akabonero ke.
[6]
Enkomerero ng'etuuse,
Ensange nga netegese,
Nga nin(a) akabonero ke,
Ak'Omwoyo Omutukuvu.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.