Nsanyuka Okwogera
[1]
Nsanyuka okwogera
Ku by'eri mu ggulu,
Ku kitiibwa kya Yesu
Era bw'atwagala;
Njagal(a) okubyogera
Kuba mbikakasa,
Bimpumuza omwoyo
Okusinga byonna.
CHORUS
Nsanyuka okwogera
Ku bigamb(o) ebilungi.
Ebigamb(o) ebikulu,
Kye kisa kya Yesu
[2]
Nsanyuk(a) okubinyumya,
Bya kitalo ddala;
Bisinga byonna byonna
bye tulowoozako.
Nabinyumyanga ebyo
Bikulu nnyo gyendi,
N'olw'ekyo nsanyuka nnyo,
(O)kubyogera wonna.
[3]
Binsanyusa nnyo nnyini,
Okubyogerako,
Buli lwe mbyogerako
Ne bimpomera nnyo.
Nsanyuk(a) okubinyumya
Bangi tabamanyi
Bulokozi bwa Yesu
Mu ekigambo kye.
[4]
Njagal(a) okubyogera,
Er(i) ababimanyi,
Ababyetaaga ennyo Okubiwulira.
Ku lunaku lwa Yesu,
Oluyimba lwange
Biriba bigamb(o) ebyo,
Bye njagala ennyo.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.