Nnyonnyola Ebya Yesu
[1]
Nnyonnyola ebya Yesu
binywreze ku mwoyo;
Ebyo bisinga (o)bulungi
Byonna (e)by'omunsi muno;
Baamalayika bayiimba
Yesu bwe yazaalibwa;
Katond(a) aweebwe (e)kitiibwa,
Emirembe gye mu nsi.
CHORUS
Nnyonnyola ebya Yesu,
Binywereze ku mwoyo
Ebyo bisinga (o)bulungi
byonna (e)by'omu nsi muno.
[2]
Bwe yabeera mu lukoola
Mu nnaku ezo zonna.
Bwe yakemebwa setaani,
Era bwe yawangula.
Mbulir(a) eby'omulimu gwe
, N'ebyennaku ze zonna;
Bwe yabonyabonyezebwa,
N'anyomebwa abantu;
[3]
Mbulir(a) eby'omusalaba,
bwe baamukomerera;
Ne bamuziika mu ntana,
N'azukira mu bafu.
Okwagala kwe (o)kunene,
Tunakwenkanya naki?
Kale ka nebaze Yesu ,
Mukama yanunula.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.