Loading Songs...

Nina Omukwano Gwange

[1]
Nin(a) Omukwano gwange, ye
Yasook(a) okwagala nze.
N'ampalula mu kisa kye,
Kye kyakkirizisa nze.
Leero ndi muddu we, naye
Abaddu be ba ddembe;
Nze wuwe, naye wange,
(E)mirembe n'emirembe.

[2]
Nin(a) Omukwano gwange, ye
Yaf(a) okundokola nze,
Kubanga obulamu bwe
Ye bwe yagabira nze;
Nze sirina obugagga.
Ebyange bibye byonna;
Newaayo mu mikono gye
Mukwano gwange ddala.

[3]
Nin(a) Omukwano gwange, ye
Yaweebwa (a)maanyi gonna
Ge galintusa ewuwe;
Sitya balabe bonna.
Eby'egulu mbiregedde
Bimyansa nnyo ng(a) efeza:
Kale nkole, nfube, nwane!
Ye alituwumuza.

[4]
Nin(a) Omukwano gwange, ye
Mulungi. ow'ekisa;
Angabira ku maanyi ge,
Annu'ngamy(a) er(a) andiisa.
Ebiriwo n'ebiribaawo
Tebirinjawukanya;
(E)mirembe egitaggwawo
Yesu mukwano gwange.


Support Mysongbooks

Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.

Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.

Buy me a coffeeBuy us a coffee

Like this song

65 Likes

Share this song

Facebook WhatsApp Twitter Telegram LinkedIn Email

Lyrics Videos on Youtube

Blessed Assurance Blessed Assurance
Golden Bells
What A Friend We Have In Jesus What A Friend We Have In Jesus
Christ In Song Hymnal
10000 Reasons 10000 Reasons
Songs On Request
AMAZING GRACE AMAZING GRACE
Songs Of Prayer And Praise