Mukama Ye Musumba
[1]
Mukama ye Musumba setagenga,
Angalamiza mu ddundiro eddungi;
Antwal(a) awali amazz(i) amateefu,
Akomyawo emmeme yange mu nteeko.
[2]
Annu'nganya Mu butuukirivu bwe,
Newakubadde nga mbeera mu kufa
Nga Ggw(e) oli nange seralikirira,
(O)luga lwo n'omugga gwo bye binkuuma.
[3]
Abalabe ne bwe babaw(o) ondiisa,
Onsiize amafuta ku mutwe gwange;
(E)kikompe kyange kijjud(d) omubisi,
Nze knabeeranga ne Yesu bulijjo.
[4]
(O)bulungi bwo n'ekisa kyo Kitange,
Kabaka wang(e) era Katonda wange;
Bibeerenga ku nze buli gye mbeera,
okutuusa lw'olimpa engule yo.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.