Mukama Gwe Kifo Kyaffe
[1]
Mukama Ggwe kifo kyaffe,
Ekyokutuulamu,
Mu mirembe n'emirembe
Era Lwazi lwaffe,
[2]
Obw'edda abatukuvu
Baakwesiganga Ggwe;
(O)Mukono gwo gwmala bo
Gunatumala ffe.
[3]
Ensi nga tenatondebwa
Ebintu nga mpaawo,
Edda n'edda gw'oba bumu
Katond(a) atagwawo.
[4]
Emyak(a) olukumi gy'oli
Lwe lunaku lumu;
Gikulukuta ng'a amazzi
Agayita (a)mangu.
[5]
N'ebintu byonn(a) eby'omu nsi
Biyita bwe bityo,
Leero tuba nabyo, naye
Jjo nga biweddewo.
[6]
Mukama Ggwe kifo kyaffe,
Ekyokutuulamu,
Mu mirembe n'emirembe
Era Lwazi lwaffe,
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.