Mujje Mwenna Abakooye
[1]
Mujje mwenna abakooye,
N'okutegana kw'ensi,
Yesu y(e) anabaaniriza,
N'okusaasir(a) okungi;
Mujje mwenna,
Mujje mwenna,
Abayita temutya.
[2]
Temutya newakubadde,
Ng'ebibi byamwe bingi;
Kyabakuutira kye kino:
Mwenenye musonyiyibwe;
Omwoyo gwe, Omwoyo gwe,
Ye anabatukuza.
[3]
Lab(a) Omwana wa Katonda,
Leer(o) abawolereza!
Lwa musaayi gwe munawona,
Bwe mwesigira ddala;
Ekisa kye, Ekisa kye,
Ekirokola bonna.
[4]
Abatukuvu be bonna,
Bamusinza n'essanyu,
Abo munsi ne mu ggulu,
Bayimba (a)matendo ge;
Aleruya! Aleruya!
Yesu Omulokozi.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.