Mu Oba Ekiseera Kirituuka Ku Nkya
[1]
Oba ekiseera kirituuka ku nkya
Okumasamasa kwe ne kulabika;
Yesu ng'ajja n'ekitiibwa ekinene
Okututwala ewuwe.
CHORUS
Ayi Mukama, olijja ddi?
Tulabe (a)maaso go!
Yesu ajja, Aleruya,
Aleruya! Amina.
Aleruya! Amina.
[2]
Buliba mu ttuntu oba kawungezi,
Tuliba tuli (a)wo ng'enzikika yonna;
Effuuka omusana ogwaka ennyo,
Mukama ng'atuddukide.
[3]
Bamalayika ne bayimba n'essanyu,
Era n'abanunule be bonna wamu
N'ekitiibwa kye
ekyakayakan(a) ennyo,
Mukama bw'alijja bw'atyo.
[4]
Tuligenda n'essanyu eteri kufa,
Teri ndwade, teri nnaku, teri ntisa;
Tuliyita mu bire wamu ne Yesu
Ng'atutwala fenn(a) ewuwe.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.