Mu Lugendo Lwange Lwonna
[1]
Mu lugendo lwange lwonna
Yesu ankulembera;
Nyinza ntya (o)kubusabusa,
Ye bw'antwala bulijjo?
Byonna ebibeera mu nze
Tebiyinza kunnumya,
(Yesu ye Mukuumi wange,
Y'angabira (o)bulamu.)x[2]
[2]
Mu lungendo lwange lwonna,
Yesu ankulembera;
Abalab(e) abalinnumba
Ye alibawangula;
Era (a)lintuusa n'essanyu
Lingi mu mirembe gye;
(Enjala bw'eba ng'ennuma
Andiisa ku mmere ye.) X[2]
[3]
Mu lungendo lwange lwonna,
Yesu ankulembera.
Era ne bwemba nga nkoye,
Ampozawoza mangu;
Enyonta ng(a) ennuma ennyo,
Ng'enkalamat(a) enzita,
(Oyo lwe Lwazi omuva,
Amazzi g'obulamu.) X[2]
[4]
Mu lugendo lwange lwonna,
Yesu onkulembera;
Ggwe Omulokozi wange.
Eyanfuul(a) omwana wo;
Ka nkutendereze bwentyo
(E)miremb(e) egitaggwawo,
(Nayimba n'essanyu lingi,
Ggwe Mununuzi wange.) X[2]
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.