Mpa Okukkiriza Okunene
[1]
Mp(a) okukkiriza (o)kunene,
Okutaddirira.
Nebwekugezebwa ennyo
Abalabe Neme kukankana,
Neme kukankana.
[2]
Obwavu nga busembera,
Bwemba mbonabona
Ngumirenga byonna byonna,
Njigiriza
Mbeere mu kkubo lyo,
Mbeere mu kkubo lyo.
[3]
Okukkiriza kwe nsaba
Okweraga ennyo;
Ebikemo nga byetala
Neme kutya
N'okubuusabuusa,
N'okubuusabuusa.
[4]
Ensi nga ekambuwadde,
Nze mbe nga sifaayo;
Obanga bansekerera,
Kiremenga
Kunzigya ku Yesu,
Kunzigya ku Yesu.
[5]
Mukama mpa (o)kukkiriza,
Okutaddirira;
Byonna ebirimberako
Bikongoke
Ontuus(e) eyo gy'oli,
Ontuus(e) eyo gy'oli.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.