Mmwe Abakuumi Ba Sayuni
[1]
Mwe (a)bakumi ba Sayuni
Obudde buli butya?
Ali kumpi (O)mulokozi
Okukomawo ku nsi?
Emmunyenye ey'enkya mugirabye?
Emmunyenye ey'enkya tugirabye!
[2]
Mwe (a)bakuumi mutegeeze
Obubonero bwaffe:
Tusemberedde omwalo,
(O)lukalu lulengerwa?
Tulengera (a)maka agomu ggulu?
Tulengera (a)maka ag'omu ggulu?
[3]
Obudde butangala nnyo
Tuyimbe olw'essanyu!
Emmambya yiiyo esala
Nga emasamasa nnyo!
Tusanyuka Yesu Mukama ajja!
Tusanyuka Yesu Mukama ajja!
[4]
(O)bubonero tubulabye
Mwogerere waggulu!
Mmwe abatukuvu mwenna,
Mulangirire ekyo.
Kusembedde (o)kununulibwa kwaffe!
Kusembedde (o)kununulibwa kwaffe!
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.