Laya E'ngoma, Tegeeza Wonna
[1]
Laya e'ngoma tegeza wonna,
Yesu alijja mangu!
Musanyuke mmwe, abatambuze,
Yesu alijja mangu!
CHORUS
Yesu ajja, Yesu ajja,
Yesu alijja mangu!
[2]
Bunya kino mu mawanga gonna,
Yesu alijja mangu!
Ajja kujja n'ekitiibwa kingi
Yesu alijja mangu.
[3]
Yimusa (a)maaso go mu nsi zonna,
Yesu alijja mangu!
Entalo n'obusungu mu Bantu,
Yesu alijja mangu.
[4]
(A)magezi geyongedde mu bantu,
Yesu alijja mangu;
Enjala era n'ebikankano,
Yesu alijja mangu.
[5]
Enjiri ebuna mangu mu nsi,
Yesu alijja mangu;
Ebyo byonna bitulaga ffe nti,
Yesu ajja mangu nnyo.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.