Kye Kiseera Ekirungi
[1]
(Kye kiseer(a) ekirungi
Ky'okusaba nate,
Katufukamire mu
maaso g(a) entebbe;
Nga tukkiriza Yesu,
tumusemberere
Mwe abakooye Mujje'
Muwummule leero!
CHORUS
Tufukamire,
Nga tuku'nganye,
Mwe abakooye mujje
Muwummule leero!
[2]
Kye kiseer(a) ekirungi
ky'okusemberera,
N'okumusinza
Yesu Omulokozi;
Mukama awulira
Okusaba kwaffe,
Mwe abakooye, mujje'
Muwummule leero!
[3]
Kye kiseera tutwal(e)
Ennaku zaffe zonna,
Tuziweeyo eri
Oyo atwagala;
Atuwanguze fenna
Mu (e)bikemo byaffe,
Mwe abakooye mujje'
Muwummule leero!
[4]
Kye kiseer(a) ekirungi,
Yesu yasuubiza,
'Munoonye, mulabe,
era mukkirize,'
Katumwesige leero,
N'okumugondera,
Mwe abakooye mujje'
Muwummule leero!
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.