Kya Ssanyu Omutambuze
[1]
Kya ssanyu omutambuz(e) Okuwulira
Ngali mu malungu nti, 'Laba,
Omununuzi wo Ajja mangu nnyo
Alye obwakabaka'.
CHORUS
Alijja!
Mmanyi nti ajja mangu,
Akomawo ku nsi kuno.
Naffe abaana be
abakooye nnyo,
Tulifuga awamu naye.
[2]
Entana z'abaana be bonna Abafa
Ziribikkuka zonna wamu;
N'abo bonna abebaka mu magombe
Balibera balamu.
[3]
Tunabanga wamu fenna mu mirembe
Nga tuyimba n'essanyu lingi;
Abanunule be baliva
wonna Okusinza Kabaka.
[4]
Aleruya, ye, Wewawo, Aleruya,
Bwe tuba mu ye tulituka;
Tunyikire okutuusa Lw'alijja,
Ne tufune engule.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.