Ku Nsozi Ennungi Ennyo
[1]
Ku nsozi ennungi ennyo,
Oba ennyanja embi,
Era ne'entalo ezamanyi.
Wonna w'onjagaliza;
Bwe mpulira nga Gwe ompita,
N'ekkubo lye simanyi,
Bw'onkwata ku mukono gwange,
Nagendaga gy'ontwala.
CHORUS
Nagenda buli gy'oyagala,
Ku nsozi ne nnyanja;
Nayogeranga bw'ondagira,
Nabanga nga bw'oloonda.
[2]
Oba waliwo ebigambo,
By'onontuma (o)kugamba,
Obanga waliwo omwana wo,
Asibidwa Setani;
Nga Gwe mukulembeze wange,
Mu buli kkubo lyonna
Nayogeranga kyonna,
kyonna, Ky'oyagala njogere.
[3]
Oba waliwo (e) kifo kyonna
Mu nnimiro yo, Yesu,
Mw'oyagala nze nkukolere,
Ndigenda okukola.
Nga nesiga okukuuma kwo
Era n'okwagala kwo,
Nakolanga nga ndi mwesigwa,
Mbeere nga Gwe bw'oloonda.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.