Kitange, Nze Nkukowoola
[1]
Kitange, nze nkukowoola,
Ggwe mubeezi wange;
Tonzigyako kukuuma kwo,
Neme okubula.
CHORUS
Nzikiriza ddala Yesu
Nga yanfirira nze;
N'ayiwa omusaayi gwe,
Nsonyiyibw(e) ebibi.
[2]
(O)mugabi w'okukkiriza,
Nze nkutunulidde!
Ekirabo kyo nkyetaaga
Wekitali nfa nze.
[3]
Omwana wo mukkiriza
Ompe amaanyi go;
Era byonna bye netaaga
Ononyamba n'ebyo.
[4]
Mmanyi nga atondeke kufa,
Yogera, omponye;
Kakano ka nnindirire
Omwoyo (o)mubeezi.
[5]
Ndijjula essanyu lingi,
Nga ndab(a) amaaso go;
Mpuliza ekigambo kyo,
Mpeebwe n'ekisa kyo.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.