Katonda Ye Yantonda
[1]
Enkya ennungi egamba
'Katonda yankola bulungi nnyo!'
Enkya ennungi egamba,
'Yantonda (ku) lwa kusooka.'
[2]
Ebire byonna bigamba
Katonda yankola bulungi nnyo
Ebire byonna bigamba
'Yantonda (ku) lwa kubiri.'
[3]
Bimuli byonna birungi bigamba,
'Yankola bulungi nnyo!'
Bimuli byonna bigamba
'Yantonda (ku) lwa kusatu'.
[4]
EMmunyenye (e)zimasamasa
zigamba 'Yatukola bulungi nnyo!'
Mmunyenye zonna zigamba,
'Yantonda Ku lwa kuna'.
[5]
Nyabo Wankoko agamba,
'Katonda yankola bulungi nnyo!'
Nnyabo Wankoko agamba,
'Yantonda (Ku) lwa kutaano'.
[6]
Omusajja n'Omukazi bagamba,
'Yatukola bulungi!
Mu kifaananyi kya Katonda
ddala, (Ku) lwa mukaaga.'
[7]
Olunaku lwa Sabbiti lugamba,
'Yantonda bulungi nnyo!
Omukisa n'ekitiibwa yabimpa,
(Ku) lwa musanvu.'
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.