Jjukira Olunaku
[1]
Jjukira (o)lunaku Yesu lwe yatuwa,
Olusinga ennak(u) endala obulungi.
Lulina okuwummula okw'omukisa,
Ogukka okuva mu ggulu eri Yesu
CHORUS
Twaniriza, Twaniriza
Sabbiti ya Yesu,
Twaniriza, Twaniriza,
Sabbiti (e)nuungi.
[2]
Ku lunaku luno tusinza Mukama,
Eyatugamba nti 'Nze kkubo n'obulamu.
Bwe tumugoberera (O)mulokozi ku nsi,
Ddala alitunywesa (a)mazzi (a)g'obulamu.
[3]
Ku lunaku luno Tumutendereza
Era tusuuta Yesu, mukwano gw'abaana.
Eri abo (a)bagudde, nga oli wa kisa!
Ayi Mukama Yesu, tukwebaza leero.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.