Jjangu Yesu Obe Mu Nze
[1]
Jjangu Yesu obe mu nze, Lungamy(a) omwoyo gwange,
Guyimbeng(a) ebiro byonna okukutendereza.
Njigiriza okusinza, ndageng(a) obulungi bwo,
Esuubi ly'amaka gaffe nga linjijuzza assanyu.
[2]
Nyimus(a) eddoboozi lyange, nga nsab(a) okuyimba kwo,
Olw'okwagala kwo kungi, olintuusa mu ggulu.
Yeso (O)mununuzi wange, Ggwe (e)yamponya okuffa,
N'oggyawo ebyonono byange, bwewawangul(a) okufa.
[3]
Yesu wang(e) okwagala kwo, bulijjo kweyongere,
Olw'ekisa kyo ekingi, kanywererenga ku ggwe.
Era nnem(e) okukuvaako, mbere mu kwagala kwo,
(O)mwoyo gwange nga gubeera, wamu naawe mu ggulu.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.