Ggwe Yesu Omulokozi
[1]
Ggwe Yesu Omulokozi,Nkwagala,
Ebyonono byange byonna mbikyaye.
Ggwe wekka omwagalwa wange Yesu,
Mukwano gwange Yesu, nkwagala nnyo
[2]
Kuba ggwe wasooka,nange nkwagala.
Wangula n'omusaayi gwo bwe wafa.
Ku lw'engule (e)yamaggwa ka nkwagale.
Mukwano gwange Yesu nkwagala nnyo.
[3]
Mu ssanyu ne mu nnaku, nze nkwagala,
Nasuutanga erinya lyo bulijjo.
(O)kufa nga kusembede ndyogera nti:
Mukwano gwange Yesu nkwagala nnyo.
[4]
Bwe ndiba nga ntuuse eyo mu ggulu,
Ndikusinza n'okwagala okungi.
N'okuyimba ndiyimba n'essanyu nti:
Mukwano gwange Yesu nkwagala nnyo.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.