Ffe Abagala Yesu
[1]
Ff(e) abagala Yesu
Ka tulage (e)ssanyu!
Leka tuyimb(e) oluyimba,
Leka tuyimb(e) oluyimba;
Kuba tusanyuse,
kuba tusanyuse.
CHORUS
Tugenda ku Sayuni,
(E)kibuga kirungi Sayuni,
Tugenderera Sayuni,
(E)kibuga kya Katonda.
[2]
Musirike mwenna
Abatatya Yesu;
Naye abaana ba Yesu,
Naye abanna ba Yesu,
Bayimbe n'essanyu,
bayimbe n'essanyu.
[3]
Mangu ajja kujja
(O)kotutwal(a) ewuwe
Eyo yeri ekifo kyo,
Eyo yeri akifo kyo;
Waggulu mu ggulu,
Waggulu mu ggulu.
[4]
Tuyimbe n'essanyu
Buli zziga liggwewo.
Kakano tugenda eyo,
Kakano tugenda eyo.
Eyo mu maka ge,
Eyo mu maka ge.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.