Bwe Ndowooza Omusalaba
[1]
Bwe ndowooz(a) omusalaba
Mukama gwe yafiirako,
(O)bugagga bwonna obwensi
Mbulaba nga tebuliimu.
[2]
Bwe ndab(a) amazzi
n'omusaayi
Ebyava mu mbirizi ze
Ne ntegeer(a) okusasira
N'okwagala kwe bwe kuli.
[3]
Yesu Mukama onkuume,
Nem(e) okwenyumirizanga,
Kino kyokka kinsanyuse
Wanjagala n'onfiirira.
[4]
Singa mbadde n'ensi zonna
Ne nziwaayo Yesu gyoli;
Zonna tezandisasudde
(E)bbanja lyang(e)
eryenkan(a) awo.
[5]
Naye kyoyagala leero,
Era kye ndeese nz(e) eri Gwe,
Kwe kwagala kwange kwonna,
Nkuwereze, nkusayuse.
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.