Ai Katonda (A)tutuusizza
[1]
Ai Katonda (a)tutuusizza,
Ku lunaku olw'essanyu;
Kiriza okwebaza kwaffe,
(A)wamu n'okusaba kwaffe.
[2]
Tukugulumiza leero,
Olw'ennyumba eno empya,
Tukunganire nga muno,
Mu kub(o) erituuka gyoli.
[3]
Abazimba (e)kkanisa eno,
Obawenga emikisa gyo,
Bonna abakulu nabato,
Bamanye okwagala kwo.
[4]
Katulabe ekitiibwa kyo,
Mu yekalu yo (e)ntukuvu;
Kubanga obulungi bwayo,
Tebugasa nga toliimu.
[5]
Bwe tukunganirangamu,
Mwoyo gyaffe ne tukuwa;
(O)buyinza bw'amazima go,
Bwerage (e)ra otuwulire.
[6]
(E)kitiibwa kyo ekitaggwawo,
Kibenga mu Kanisa yo;
Ekulembere (a)bantu bo,
Okubatuusa mu ggulu.
Amiina
Support Mysongbooks
Support us by joining the Buy Me A Coffee community and making a small donation, you can help us expand our library and ensure that music lovers everywhere can enjoy their favorite songs to the fullest. We're passionate about music, and we know you are too, so let's work together to keep the music alive.
Thank you for being a part of our community and supporting our mission to provide the best lyrics library on the internet.